Download PDF
Back to stories list

Abaana abaava mu nvumbo Children of wax Les enfants de cire

Written by Southern African Folktale

Illustrated by Wiehan de Jager

Translated by Mwesigwa Joshua Waswa

Language Luganda

Level Level 2

Narrate full story The audio for this story is currently not available.


Awo olwatuuka ne wabaawo amaka agaali amasanyufu ennyo.

Once upon a time, there lived a happy family.

Il était une fois une famille bien heureuse.


Tebaalwanagananga era baayambanga nnyo bazadde baabwe ewaka ne mu nnimiro.

They never fought with each other. They helped their parents at home and in the fields.

Ils ne se disputaient jamais. Ils aidaient leurs parents à la maison et dans les champs.


Naye tebaabaganyanga kuliraana muliro.

But they were not allowed to go near a fire.

Mais ils n’avaient pas le droit de s’approcher d’un feu.


Baakolanga emirimu gyabwe mu budde obw’ekiro. Kubanga baali baakolebwa mu nvumbo.

They had to do all their work during the night. Because they were made of wax!

Ils devaient faire tout leur travail pendant la nuit. Puisqu’ils étaient faits de cire !


Omu ku balenzi yayagalanga nnyo okugendako mu musana.

But one of the boys longed to go out in the sunlight.

Mais un des garçons désirait se promener au soleil.


Olunaku lumu, omwana omulenzi oyo yawulira ng’ayagala nnyo okugenda mu musana naye baganda be ne bamulabula…

One day the longing was too strong. His brothers warned him…

Un jour son désir était trop puissant. Ses frères l’avertirent…


Naye omulenzi ono yali yagenze dda mu musana. Omulenzi oyo era yasaanuukira mu musana ogwali gwaka ennyo.

But it was too late! He melted in the hot sun.

Mais c’était trop tard ! Il fondit au soleil brûlant.


Baganda be ne banakuwala nnyo olwa muganda waabwe okusaanuuka.

The wax children were so sad to see their brother melting away.

Les enfants de cire étaient si tristes de voir leur frère fondre.


Naye ne bayiiya okubaako kye bakola. Olwo ne bakola ekinyonyi okuva nvumbo eyasaanuuka okuva mu muganda waabwe.

But they made a plan. They shaped the lump of melted wax into a bird.

Mais ils firent un plan. Ils façonnèrent le morceau de cire fondue en oiseau.


Ekinyonyi ekyo kye bo kye baalaba nga muganda waabwe ne bakitwala ku lusozi oluwanvu ne bakiteeka eyo.

They took their bird brother up to a high mountain.

Ils apportèrent leur frère l’oiseau jusqu’au sommet d’une montagne haute.


Awo omusana bwe gwayaka ne kibuuka nga bwe kiyimba mu kitangaala ky’oku makya.

And as the sun rose, he flew away singing into the morning light.

Et lorsque le soleil se leva, il s’envola vers la lumière du matin en chantant.


Written by: Southern African Folktale
Illustrated by: Wiehan de Jager
Translated by: Mwesigwa Joshua Waswa
Language: Luganda
Level: Level 2
Source: Children of wax from African Storybook
Creative Commons License
This work is licensed under a Creative Commons Attribution 3.0 International License.
Options
Back to stories list Download PDF