Abaana abaava mu nvumbo

Awo olwatuuka ne wabaawo amaka agaali amasanyufu ennyo.

1

Tebaalwanagananga era baayambanga nnyo bazadde baabwe ewaka ne mu nnimiro.

2

Naye tebaabaganyanga kuliraana muliro.

3

Baakolanga emirimu gyabwe mu budde obw'ekiro.

4

Kubanga baali baakolebwa mu nvumbo.

5

Omu ku balenzi yayagalanga nnyo okugendako mu musana.

6

Olunaku lumu, omwana omulenzi oyo yawulira ng'ayagala nnyo okugenda mu musana naye baganda be ne bamulabula...

7

Naye omulenzi ono yali yagenze dda mu musana. Omulenzi oyo era yasaanuukira mu musana ogwali gwaka ennyo.

8

Baganda be ne banakuwala nnyo olwa muganda waabwe okusaanuuka.

9

Naye ne bayiiya okubaako kye bakola. Olwo ne bakola ekinyonyi okuva nvumbo eyasaanuuka okuva mu muganda waabwe.

10

Ekinyonyi ekyo kye bo kye baalaba nga muganda waabwe ne bakitwala ku lusozi oluwanvu ne bakiteeka eyo.

11

Awo omusana bwe gwayaka ne kibuuka nga bwe kiyimba mu kitangaala ky'oku makya.

12

Abaana abaava mu nvumbo

Text: Southern African Folktale
Illustrations: Wiehan de Jager
Translation: Mwesigwa Joshua Waswa
Language: Luganda
Read by: Elizabeth Namazzi

This story is brought to you by the Global African Storybook Project, an effort to translate the stories of the African Storybook Project into all the languages of the world.

You can view the original story on the ASP website here

Global ASP logo

Creative Commons License
This work is licensed under a Creative Commons Attribution 3.0 Unported License.