Nakku n'enviiri essatu

Edda ennyo, abawala basatu baagenda okutyaba enku.

1

Akasana kaali kaaka nyo so ne bagenda ku mugga okuwuga. Baazanya nga bwe beesammuliza amazzi era nga bwe bawuga.

2

Tebaalwa ne balaba ng'obudde bubayiseeko. Baayanguwa mangu okuddayo mu eka.

3

Baba banaatera okutuuka eka, Nakku n'akwata mu bulago bwe era n'akizuula nti yali yeerabbidde omukuufu gwe! Ky'ava asaba banne nti, "Bambi munnyambe tuddeyo ffena!" Naye mikwano gye ne bamuddamu nti obudde bwali buyise nnyo.

4

Kati Nakku n'addayo ku mugga yekka. Omukuufu yagufuna era n'ayanguwa okuddayo eka. Wabula bambi ekkubo lyamubula olw'enzikiza.

5

Bwe yatunula mu maaso gy'alaga n'alaba ekitangaala mu kasiisira. Yayanguwa okukatukako era n'akonkona ku luggi.

6

Ekyamwewuunyisa kwe kulaba nga Wambwa y'aggulawo oluggi era n'amubuuza nti, "Oygala ki?" Ko Nakku nti, "Mbuze era njagala kufuna w'akusula!" Wambwa n'amuddamu nti, "Yingira awatali ekyo nja kukuluma!" Nakku n'ayingira mu nda.

7

Wambwa n'amugamba nti, "Nfumbira." Nakku n'addamu nti, "Sifumbiranga ku Wambwa." Ko Wambwa nti, "Fumba, awatali ekyo nja kukuluma." Bw'atyo Nakku n'afumbira Wambwa emmere.

8

Ekyo bwe kyaggwa, Wambwa n'amugamba nti, "Njalira obuliri." Nakku n'addamu nti, "Saalanga ku buliri bwa Wambwa." Ko Wambwa, "Yala obuliri, awatali ekyo nja kukuluma." Bw'atyo Nakku n'ayala obuliri.

9

Buli lunaku yalina okufumba, okwera n'okwoleza Wambwa. Lwali lumu Wambwa n'amugamba nti, "Nakku, olwaleero ηηenda kukyalira ku mikwano gyange. Yere ennyumba, fumba emmere, era oyoze n'ebintu byange nga sinnadda."

10

Amangu ddala nga Wambwa angenze, Nakku n'afuna enviiri ssatu okuva ku mutwe gwe. Oluviiri olumu yaluteeka wansi w'ekitanda, olulala n'aluteeka emabega w'oluggi, n'olulala n'aluteeka mu kiraalo. Oluvannyuma n'adduka emisinde miyitirivu okutuuka ewaka.

11

Wambwa bwe yakomawo, n'anoonya Nakku. N'atandika okuyita nti, "Nakku, Nnaku, oli ludda wa?" Oluviiri olwasooka ne lwanukula nti, "Ndi wano wansi w'ekitanda." Olw'okubir ne lugamba nti, "Ndi mabega wano emabega w'oluggi." N'oluviiri olw'okusatu ne lugamba nti, "Ndi wano mu kiraalo."

12

Awo Wambwa n'ategeera nti Nakku yali amusalidde amagezi. Kye yava nno adduka nnyo nnyo okutuuka ku kyalo kya Nakku. Naye bannyina Nakku baali bagiteeze awo n'emiggo eminene. Wambwa yakyuka n'addayo era okuva olwo taddangamu kulabikako.

13

Nakku n'enviiri essatu

Text: Tessa Welch
Illustrations: Wiehan de Jager
Translation: Rev Joseph M Katabaro
Language: Luganda
Read by: Elizabeth Namazzi

This story is brought to you by the Global African Storybook Project, an effort to translate the stories of the African Storybook Project into all the languages of the world.

You can view the original story on the ASP website here

Global ASP logo

Creative Commons License
This work is licensed under a Creative Commons Attribution 3.0 Unported License.