Olunaku lumu maama yale ebibala, ennanansi, amenvu, emicu emiyembe amapeera. Yabiwanika ku kabada wag.
有一天,妈妈买了很多水果。
Twabuuza maama nti “Ffe tunaalya ddi ku bibala?” Maama yaddamu nti, “Tujja kulya olwaleero.”
我们都问她:“什么时候可以吃水果?”妈妈说:“等今天晚上再吃。”
Muganda wange Kayima wamululu nnyo. Yagenda alumaluma ku buli kibala. ebisinga yeyabirya. Bweyamala okubirya ye nagenda okuzannya.
我哥哥拉希姆很贪吃,所有的水果都想尝尝。结果他吃了很多。
Muto wange omulala yagamba nti “Mazima labayo kayima kyakoze!” Kayima si muntu mulungi ate alina nnyo omululu.
弟弟叫着说:“看看拉希姆做了什么!”。我跟着说:“拉希姆很调皮很自私。”
Maama yanyigira nnyo Kayima.
妈妈对拉希姆很生气。
Era naffe twanyigira nnyo Kayima. Kyokka yye Kayima nga teyefiirayo.
我们也对拉希姆很生气。可是拉希姆并不感到惭愧。
Muto wange yabuuza maama nti “Kayima togenda kumubonereza?”
小弟弟问:“拉希姆不是该罚了吗?”
“Kayima, olina okutwentondera mangu ddala”
妈妈警告说:“拉希姆,你很快就会后悔的。”
Kati kayima tawulira bulungi.
不久,拉希姆果然开始感到恶心起来。
Kayima yayogera mu kaama nti “Olubuto lunnuma nnyo.”
拉希姆小声说:“我肚子很疼。”
Maama yali yakitegedde dda nti olubuto lujja kumuluma. Kati ebibala bibonereza Kayima!
妈妈早料到会发生这样的事情。拉希姆受到了水果的惩罚!
Oluvanyuma Kayima yatusaba tumusonyiwe. Yagamba nti “sikyaddamu kubeera na mululu mulundi mulala” naffe twamusonyiwa.
后来,拉希姆跟我们道歉说:“以后我再也不会贪吃了。”而我们这次都相信他!