Awo olwatuuka ne
wabaawo amaka agaali
amasanyufu ennyo.
很久很久以前,有一家人快乐地生活在一起。
Tebaalwanagananga
era baayambanga nnyo
bazadde baabwe ewaka
ne mu nnimiro.
孩子们从来不打架,还帮助爸爸妈妈做家务,干农活。
Naye tebaabaganyanga
kuliraana muliro.
但是他们不能靠近火焰。
Baakolanga emirimu
gyabwe mu budde
obw’ekiro.
Kubanga baali baakolebwa mu nvumbo.
没办法,他们只能在晚上工作,因为他们都是用蜡做的!
Omu ku balenzi
yayagalanga nnyo
okugendako mu
musana.
但是其中一个男孩非常想出门,他想走到太阳底下看看。
Olunaku lumu, omwana
omulenzi oyo yawulira
ng’ayagala nnyo
okugenda mu musana
naye baganda be ne
bamulabula…
有一天,这种渴望太强烈了。虽然他的兄弟们警告过他……
Naye omulenzi ono yali
yagenze dda mu
musana.
Omulenzi oyo era
yasaanuukira mu
musana ogwali gwaka
ennyo.
但是太晚了!他在太阳底下融化了。
Baganda be ne
banakuwala nnyo olwa
muganda waabwe
okusaanuuka.
其他蜡做的孩子看到他们的兄弟融化消失了,非常伤心。
Naye ne bayiiya
okubaako kye bakola.
Olwo ne bakola
ekinyonyi okuva
nvumbo eyasaanuuka
okuva mu muganda
waabwe.
但是他们想出了一个好主意:他们把熔化的蜡块捏成了一只鸟。
Ekinyonyi ekyo kye bo
kye baalaba nga
muganda waabwe ne
bakitwala ku lusozi
oluwanvu ne bakiteeka
eyo.
他们把变成鸟的兄弟带到了一座高山上。
Awo omusana bwe
gwayaka ne kibuuka
nga bwe kiyimba mu
kitangaala ky’oku
makya.
太阳升起来了,他迎着晨光唱着歌,飞走了。