返回故事列表
Nakku n’enviiri essatu
诺孜贝儿和三根头发
Tessa Welch
Wiehan de Jager
Rev Joseph M Katabaro
本故事尚未有语音版。
Edda ennyo, abawala basatu
baagenda okutyaba enku.
很久很久以前,有三个女孩,她们一起外出找柴火。
Akasana kaali kaaka nyo so ne
bagenda ku mugga okuwuga.
Baazanya nga bwe beesammuliza
amazzi era nga bwe bawuga.
天很热,她们跳下河游了个泳。她们一边游泳,一边嬉戏,溅出很多水花。
Tebaalwa ne balaba ng’obudde
bubayiseeko.
Baayanguwa mangu okuddayo mu
eka.
突然,她们意识到天已经很晚了,匆匆忙忙赶回村子。
Baba banaatera okutuuka eka,
Nakku n’akwata mu bulago bwe era
n’akizuula nti yali yeerabbidde
omukuufu gwe! Ky’ava asaba banne
nti, “Bambi munnyambe tuddeyo
ffena!” Naye mikwano gye ne
bamuddamu nti obudde bwali
buyise nnyo.
当她们快到家的时候,诺孜贝儿摸了摸她的脖子:她把项链落在了外面。于是她请求她的朋友们:“和我一起回去找找吧!”但她的朋友们都说太晚了。
Kati Nakku n’addayo ku mugga
yekka.
Omukuufu yagufuna era
n’ayanguwa okuddayo eka. Wabula
bambi ekkubo lyamubula
olw’enzikiza.
诺孜贝儿一个人回到河边,一找到了项链,就赶忙回家,但天太黑了,她迷路了。
Bwe yatunula mu maaso gy’alaga
n’alaba ekitangaala mu kasiisira.
Yayanguwa okukatukako era
n’akonkona ku luggi.
她远远地看见有个小木屋,木屋里有一丝光亮。她跑到木屋门口,敲了敲门。
Ekyamwewuunyisa kwe kulaba nga
Wambwa y’aggulawo oluggi era
n’amubuuza nti, “Oygala ki?” Ko
Nakku nti, “Mbuze era njagala
kufuna w’akusula!”
Wambwa n’amuddamu nti, “Yingira
awatali ekyo nja kukuluma!”
Nakku n’ayingira mu nda.
诺孜贝儿吃了一惊,开门的是一只会说话的狗:“你来干嘛?”诺孜贝儿说:“我迷路了,我要找个地方睡觉。”狗回答说:“进来吧,不然我就咬你!”然后诺孜贝儿就进了屋。
Wambwa n’amugamba nti,
“Nfumbira.”
Nakku n’addamu nti, “Sifumbiranga
ku Wambwa.” Ko Wambwa nti,
“Fumba, awatali ekyo nja
kukuluma.” Bw’atyo Nakku
n’afumbira Wambwa emmere.
狗说:“给我做饭!”诺孜贝儿回答说:“但我从来没有给狗做过饭。”狗说:“快做饭,不然我就咬你。”诺孜贝儿没办法,只能给狗做了一些吃的。
Ekyo bwe kyaggwa, Wambwa
n’amugamba nti, “Njalira obuliri.”
Nakku n’addamu nti, “Saalanga ku
buliri bwa Wambwa.” Ko Wambwa,
“Yala obuliri, awatali ekyo nja
kukuluma.” Bw’atyo Nakku n’ayala
obuliri.
狗说:“给我铺床!”诺孜贝儿回答说:“但我从来没有给狗铺过床。”狗说:“快铺床,不然我就咬你。”诺孜贝儿没办法,只能给狗铺了床。
Buli lunaku yalina okufumba,
okwera n’okwoleza Wambwa. Lwali
lumu Wambwa n’amugamba nti,
“Nakku, olwaleero ηηenda kukyalira
ku mikwano gyange. Yere
ennyumba, fumba emmere, era
oyoze n’ebintu byange nga
sinnadda.”
诺孜贝儿每天都要给狗做饭,打扫屋子,洗衣服。有一天,狗说:“诺孜贝儿,我今天要出门见朋友。在我回来之前,你要打扫好屋子,做好饭,洗好衣服。”
Amangu ddala nga Wambwa
angenze, Nakku n’afuna enviiri
ssatu okuva ku mutwe gwe. Oluviiri
olumu yaluteeka wansi w’ekitanda,
olulala n’aluteeka emabega
w’oluggi, n’olulala n’aluteeka mu
kiraalo.
Oluvannyuma n’adduka emisinde
miyitirivu okutuuka ewaka.
狗一走,诺孜贝儿就从头上拔了三根头发下来。她把一根头发放在床下,一根放在门背后,还有一根放在篱笆上。然后诺孜贝儿用尽全力跑回了家。
Wambwa bwe yakomawo,
n’anoonya Nakku. N’atandika
okuyita nti, “Nakku, Nnaku, oli ludda
wa?” Oluviiri olwasooka ne
lwanukula nti, “Ndi wano wansi
w’ekitanda.” Olw’okubir ne lugamba
nti, “Ndi mabega wano emabega
w’oluggi.”
N’oluviiri olw’okusatu ne lugamba
nti, “Ndi wano mu kiraalo.”
当狗回到家的时候,它开始找诺孜贝儿:“诺孜贝儿,你在哪里?”第一根头发说:“我在这儿,在床底下。”第二根头发说:“我在这儿,在门背后。”第三根头发说:“我在这儿,在篱笆上。”
Awo Wambwa n’ategeera nti Nakku
yali amusalidde amagezi. Kye yava
nno adduka nnyo nnyo okutuuka ku
kyalo kya Nakku.
Naye bannyina Nakku baali
bagiteeze awo n’emiggo eminene.
Wambwa yakyuka n’addayo era
okuva olwo taddangamu kulabikako.
狗明白了诺孜贝儿耍的花招。它一路跑到诺孜贝儿的村庄,但是诺孜贝儿的兄弟们正拿着棍子等着它呢!狗见状不妙,赶紧跑开了,从此再也没人见过它。
作者: Tessa Welch
插图: Wiehan de Jager
译文: Rev Joseph M Katabaro